Wambuzzi, Wambwa ne Wante baali ba mukwano nnyo. Olumu baagenda ku lugendo mu takisi.
Goat, Dog, and Cow
were great friends. One
day they went on a
journey in a taxi.
Bwe baatuuka gye balaga, omugoba w’emmotoka na’basaba basasule ssente. Wante yasasula ezize.
When they reached the
end of their journey, the
driver asked them to
pay their fares. Cow
paid her fare.
Wambwa yasasula ezisinga ku ze yali alina okusasula, kubanga teyalina muwendo gwa ssente gwennyini.
Dog paid a bit extra,
because he did not
have the correct money.
Omugoba w’emmotoka yali anaatera okuddiza Wambwa ssente ze naye Wambuzi n’atandika okudduka ate nga tasasudde.
The driver was about to
give Dog his change
when Goat ran away
without paying
anything.
Omugoba yanyiiga nnyo era n’agenda nga taddizza Wambwa ssente ze.
The driver was very
annoyed. He drove
away without giving
Dog his change.
Ky’ova olaba n’okutuusa leero, Wambwa adduka okulingiza mu mmotoka alabe omugoba omuvuzi w’emmotoka alina ssente ze.
That is why, even
today, Dog runs
towards a car to peep
inside and find the
driver who owes him his
change.
Ate ye Wambuzi bw’awulira emmotoka ejja, adduka kubanga atya nti bayinza okumukwata olw’obutasasula.
Goat runs away from
the sound of a car. She
is afraid she will be
arrested for not paying
her fare.
Wante ye tafaayo oba emmotoka ne bw’eba ejja. Asala ekkubo nga yeetwala anti akimanyi nti yasasula n’amalayo.
And Cow is not
bothered when a car is
coming. Cow takes her
time crossing the road
because she knows she
paid her fare in full.