Download PDF
Back to stories list

Nakku n’enviiri essatu Nozibele and the three hairs

Written by Tessa Welch

Illustrated by Wiehan de Jager

Translated by Rev Joseph M Katabaro

Language Luganda

Level Level 3

Narrate full story The audio for this story is currently not available.


Edda ennyo, abawala basatu baagenda okutyaba enku.

A long time ago, three girls went out to collect wood.


Akasana kaali kaaka nyo so ne bagenda ku mugga okuwuga. Baazanya nga bwe beesammuliza amazzi era nga bwe bawuga.

It was a hot day so they went down to the river to swim. They played and splashed and swam in the water.


Tebaalwa ne balaba ng’obudde bubayiseeko. Baayanguwa mangu okuddayo mu eka.

Suddenly, they realised that it was late. They hurried back to the village.


Baba banaatera okutuuka eka, Nakku n’akwata mu bulago bwe era n’akizuula nti yali yeerabbidde omukuufu gwe! Ky’ava asaba banne nti, “Bambi munnyambe tuddeyo ffena!” Naye mikwano gye ne bamuddamu nti obudde bwali buyise nnyo.

When they were nearly home, Nozibele put her hand to her neck. She had forgotten her necklace! “Please come back with me!” she begged her friends. But her friends said it was too late.


Kati Nakku n’addayo ku mugga yekka. Omukuufu yagufuna era n’ayanguwa okuddayo eka. Wabula bambi ekkubo lyamubula olw’enzikiza.

So Nozibele went back to the river alone. She found her necklace and hurried home. But she got lost in the dark.


Bwe yatunula mu maaso gy’alaga n’alaba ekitangaala mu kasiisira. Yayanguwa okukatukako era n’akonkona ku luggi.

In the distance she saw light coming from a hut. She hurried towards it and knocked at the door.


Ekyamwewuunyisa kwe kulaba nga Wambwa y’aggulawo oluggi era n’amubuuza nti, “Oygala ki?” Ko Nakku nti, “Mbuze era njagala kufuna w’akusula!” Wambwa n’amuddamu nti, “Yingira awatali ekyo nja kukuluma!” Nakku n’ayingira mu nda.

To her surprise, a dog opened the door and said, “What do you want?” “I’m lost and I need a place to sleep,” said Nozibele. “Come in, or I’ll bite you!” said the dog. So Nozibele went in.


Wambwa n’amugamba nti, “Nfumbira.” Nakku n’addamu nti, “Sifumbiranga ku Wambwa.” Ko Wambwa nti, “Fumba, awatali ekyo nja kukuluma.” Bw’atyo Nakku n’afumbira Wambwa emmere.

Then the dog said, “Cook for me!” “But I’ve never cooked for a dog before,” she answered. “Cook, or I’ll bite you!” said the dog. So Nozibele cooked some food for the dog.


Ekyo bwe kyaggwa, Wambwa n’amugamba nti, “Njalira obuliri.” Nakku n’addamu nti, “Saalanga ku buliri bwa Wambwa.” Ko Wambwa, “Yala obuliri, awatali ekyo nja kukuluma.” Bw’atyo Nakku n’ayala obuliri.

Then the dog said, “Make the bed for me!” Nozibele answered, “I’ve never made a bed for a dog.” “Make the bed, or I’ll bite you!” the dog said. So Nozibele made the bed.


Buli lunaku yalina okufumba, okwera n’okwoleza Wambwa. Lwali lumu Wambwa n’amugamba nti, “Nakku, olwaleero ηηenda kukyalira ku mikwano gyange. Yere ennyumba, fumba emmere, era oyoze n’ebintu byange nga sinnadda.”

Every day she had to cook and sweep and wash for the dog. Then one day the dog said, “Nozibele, today I have to visit some friends. Sweep the house, cook the food and wash my things before I come back.”


Amangu ddala nga Wambwa angenze, Nakku n’afuna enviiri ssatu okuva ku mutwe gwe. Oluviiri olumu yaluteeka wansi w’ekitanda, olulala n’aluteeka emabega w’oluggi, n’olulala n’aluteeka mu kiraalo. Oluvannyuma n’adduka emisinde miyitirivu okutuuka ewaka.

As soon as the dog had gone, Nozibele took three hairs from her head. She put one hair under the bed, one behind the door, and one in the kraal. Then she ran home as fast as she could.


Wambwa bwe yakomawo, n’anoonya Nakku. N’atandika okuyita nti, “Nakku, Nnaku, oli ludda wa?” Oluviiri olwasooka ne lwanukula nti, “Ndi wano wansi w’ekitanda.” Olw’okubir ne lugamba nti, “Ndi mabega wano emabega w’oluggi.” N’oluviiri olw’okusatu ne lugamba nti, “Ndi wano mu kiraalo.”

When the dog came back, he looked for Nozibele. “Nozibele, where are you?” he shouted. “I’m here, under the bed,” said the first hair. “I’m here, behind the door,” said the second hair. “I’m here, in the kraal,” said the third hair.


Awo Wambwa n’ategeera nti Nakku yali amusalidde amagezi. Kye yava nno adduka nnyo nnyo okutuuka ku kyalo kya Nakku. Naye bannyina Nakku baali bagiteeze awo n’emiggo eminene. Wambwa yakyuka n’addayo era okuva olwo taddangamu kulabikako.

Then the dog knew that Nozibele had tricked him. So he ran and ran all the way to the village. But Nozibele’s brothers were waiting there with big sticks. The dog turned and ran away and has never been seen since.


Written by: Tessa Welch
Illustrated by: Wiehan de Jager
Translated by: Rev Joseph M Katabaro
Language: Luganda
Level: Level 3
Source: Nozibele and the three hairs from African Storybook
Creative Commons License
This work is licensed under a Creative Commons Attribution 3.0 International License.
Read more level 3 stories:
Options
Back to stories list Download PDF