Download PDF
Back to stories list

Lwaki Envubu tezirina bwoya Why hippos have no hair

Written by Basilio Gimo, David Ker

Illustrated by Carol Liddiment

Translated by Joshua Waswa Mwesigwa

Language Luganda

Level Level 2

Narrate full story The audio for this story is currently not available.


Lwali lumu nga Wakayima atambula kulubalama lw’omugga

One day, Rabbit was walking by the riverside.


Envubu nayo yaliwo ng’eyimiride era nga bw’erya kumuddo ogwakiragala ogwali gulabika obulungi.

Hippo was there too, going for a stroll and eating some nice green grass.


Envubu teyalaba wakayima, era mubutanwa Envubu n’erinnya kukigere kya Wakayima. Wakayima n’akaaba nga bw’alekaanira Envubu nti “Nvubu gwe, tolaba nti onninye kukigere ?”

Hippo didn’t see that Rabbit was there and she accidentally stepped on Rabbit’s foot. Rabbit started screaming at Hippo, “You Hippo! Can’t you see that you’re stepping on my foot?”


Envubu ne yetondera Wakayima nti; “Ow’omukwano bambi nsonyiwa, mbade sikulabye.” Wakayima teyawuliriza Nvubu, era mu ddoboozi eryawaggulu nagidamu nti “Okigenderedde! era olunaku lumu ojja kukisasulira”.

Hippo apologised to Rabbit, “I’m so sorry. I didn’t see you. Please forgive me!” But Rabbit wouldn’t listen and he shouted at Hippo, “You did that on purpose! Someday, you’ll see! You’re going to pay!”


Awo Wakayima n’agenda ew’ Omuliro nagugamba nti, “Genda oyokye Envubu bwe banga evude ku mugga okulya omuddo. Kubanga eninye kukigere kyange!” K’Omuliro nti “tewali buzibu, Wakayima, mukwano gwange

Rabbit went to find Fire and said, “Go, burn Hippo when she comes out of the water to eat grass. She stepped on me!” Fire answered, “No problem, Rabbit, my friend. I’ll do just what you ask.”


Oluvanyuma Envubu yali erya omuddo nga y’esuddeko akabanga okuva awali omuga, Enimi z’Omuliro ne zigwa ku Nvubu ne zitandika okwokya obwoya bw’Envubu zonna.

Later, Hippo was eating grass far from the river when, “Whoosh!” Fire burst into flame. The flames began to burn Hippo’s hair.


Envubu netandika okukaaba nga bw’edduka okuyingira mu mazzi g’omugga. Obwoya bw’Envubu bwona nga busiriride mu muliro. Envubu nekaaba nnyo. “Obwoya bwange bwonna bujjiride mu muliro” “Obw’okyeza” “Obwoya bwange bwona obulungi

Hippo started to cry and ran for the water. All her hair was burned off by the fire. Hippo kept crying, “My hair has burned in the fire! My hair is all gone! My beautiful hair!”


Y’ensonga lwaki Envubu tegenda wala okuva okumpi n’amazzi olwokutya okwokebwa omuliro. Era Wakayima yasanyuka nnyo ngabweyewana; “Nange mwesasuza.”

Rabbit was happy that Hippo’s hair was burned. And to this day, for fear of fire, the hippo never goes far from the water.


Written by: Basilio Gimo, David Ker
Illustrated by: Carol Liddiment
Translated by: Joshua Waswa Mwesigwa
Language: Luganda
Level: Level 2
Source: Why hippos have no hair from African Storybook
Creative Commons License
This work is licensed under a Creative Commons Attribution 3.0 International License.
Options
Back to stories list Download PDF