Download PDF
Back to stories list

Wankoko ne Wakamunye Hen and Eagle

Written by Ann Nduku

Illustrated by Wiehan de Jager

Translated by Robert Ssebukyu

Language Luganda

Level Level 3

Narrate full story The audio for this story is currently not available.


Edda ennyo, Wankoko ne Wakamunye baabeeranga wamu mirembe n’ebinyonyi ebirala byonna. Buli kimu baakikoleranga wamu.

Once upon a time, Hen and Eagle were friends. They lived in peace with all the other birds. None of them could fly.


Olwali olwo enjala n’egwa. Kamunye yalina okutambula olugendo luwanvuko okufuna ekyokulya. Yakomawo ng’akooye nnyo. Wakamunye kye yava agamba nti, “Wateekwa okubeera engeri ennyangu ey’okutambula.”

One day, there was famine in the land. Eagle had to walk very far to find food. She came back very tired. “There must be an easier way to travel!” said Eagle.


Bwe bwakya ku makya Wankoko yali afunye ekirowoozo ekirungi. Yatandika okukuηηaanya ebyoya by’ebinyonyi ebyali byafa edda. Wankoko n’agamba nti, “Tutunge ebyoya bino tubigatte ku byaffe. Oboolyawo kiyinza okutwanguyiza nga tutambula.”

After a good night’s sleep, Hen had a brilliant idea. She began collecting the fallen feathers from all their bird friends. “Let’s sew them together on top of our own feathers,” she said. “Perhaps that will make it easier to travel.”


Ku kyalo ekyo kyonna, Wakamunye ye yekka eyalina empiso era ye yasooka okutunga. Teyalwa n’abuuka ng’alina ebiwaawaatiro ebirungi ddala era n’alaba nga Wankoko amulese wansi ddala. Wankoko yatuuka n’akoowa okutunga. Yateeka empiso ku kabada n’agenda mu ffumbiro okufumbira abaana be emmere.

Eagle was the only one in the village with a needle, so she started sewing first. She made herself a pair of beautiful wings and flew high above Hen. Hen borrowed the needle but she soon got tired of sewing. She left the needle on the cupboard and went into the kitchen to prepare food for her children.


Wabula ebinyonyi ebirala byali birabye Wakamunye n’abuuka. Ebinyonyi byansaba Wankoko empiso nabyo bitunge ebiwawaatiro byabyo. Ebbanga teryalwa ne wabaawo ebinyonyi ebyali bibuukira mu bbanga.

But the other birds had seen Eagle flying away. They asked Hen to lend them the needle to make wings for themselves too. Soon there were birds flying all over the sky.


Ekinnyonyi ekyasembayo okutuunga bwe kyakomyawo empiso, Wankoko teyaliiwo. Abaana ba Wankoko ne batwala empiso ne batandika okugizannyisa. Bwe baakoowa okugizannyisa ne bagireka mu musenyu.

When the last bird returned the borrowed needle, Hen was not there. So her children took the needle and started playing with it. When they got tired of the game, they left the needle in the sand.


Ku olwo emisana Wakamunye yakomawo ewaka. Yabuuza empiso ye gy’eri asobole okutunga ebyoya ebyali bitadde ng’ali ku lugendo lwe. Wankoko yanoonya ku kabada, mu ffumbiro, mu luggya naye nga empiso terabikako.

Later that afternoon, Eagle returned. She asked for the needle to fix some feathers that had loosened on her journey. Hen looked on the cupboard. She looked in the kitchen. She looked in the yard. But the needle was nowhere to be found.


Wankoko ne yeegayirira Wakamunye nti, “Mpaayo olunaku lumu bwe luti nginoonye awo olyoke ate oddemu obuuke onone emmere.” Wakamunye n’amugamba nti, “Nkuwadde olunaku lumu lwokka. Empiso bw’otoogirabea nga onsasulamu omu ku baana bo.”

“Just give me a day,” Hen begged Eagle. “Then you can fix your wing and fly away to get food again.” “Just one more day,” said Eagle. “If you can’t find the needle, you’ll have to give me one of your chicks as payment.”


Wakamunye bwe yakomawo enkeera, n’asanga Wankoko ng’atakula mu musenyu okunoonya empiso naye nga tagiraba. Wakamunye kye yava akka wansi n’ayoolawo akaaana ka Wankoko kamu n’akatwala. N’okuva olwo Wakamunye buli lw’ajja, asanga Wankoko atakula okunoonya empiso.

When Eagle came the next day, she found Hen scratching in the sand, but no needle. So Eagle flew down very fast and caught one of the chicks. She carried it away. Forever after that, whenever Eagle appears, she finds Hen scratching in the sand for the needle.


Wankoko buli lw’alaba ku kisiikirize ky’ekiwaawaatiro kya Wakamunye ng’alabula abaana be ng’abugamba nti, “Muve mangu mu kyangaala mugende mkweke.” Nabwo nga buddamu nti, “Naffe tetuli basiru, ka tudduke.”

As the shadow of Eagle’s wing falls on the ground, Hen warns her chicks. “Get out of the bare and dry land.” And they respond: “We are not fools. We will run.”


Written by: Ann Nduku
Illustrated by: Wiehan de Jager
Translated by: Robert Ssebukyu
Language: Luganda
Level: Level 3
Source: Hen and Eagle from African Storybook
Creative Commons License
This work is licensed under a Creative Commons Attribution 3.0 International License.
Read more level 3 stories:
Options
Back to stories list Download PDF